President wa Uganda Yoweri Kaguta Museveni Tibuhaburwa atadde omukono ku mateeka agaluηηamya ensolooza y’omusolo mu ggwanga , okusobozesa government okufuna ensimbi eziwanirira embalirira y’eggwanga ey’omwaka gw’ebyensimbi 2025/2026 ogutandise olwa leero nga 01 July,2025.
Mu kiro ekikeeseza olwaleero olwa ku saawa mukaaga , eggwanga litandiise omwaka gw’ebyensimbi Omuggya, n’embalirira y’eggwanga ey’omwaka gw’ebyensimbi 2025/2026 eya trillion 72 etandiise okukola mu butongole.
Omwaka guno nga tegunatandika, president Museveni asoose kuteeka omukono ku mateeka agaluηηamya enkuηηaanya y’omusolo.
Amateeka ago government geegenda okwesigamako okusoloooza omusolo ogwa trillion 37.
Amateeka president gaataddeko omukono:
Kuliko erya
-THE VALUE ADDED TAX (AMENDMENT) ACT, 2025.
-THE STAMP DUTY (AMENDMENT) ACT, 2025.
-THE EXCISE DUTY (AMENDMENT) (No.2) ACT, 2025.
-THE TAX PROCEDURES CODE (AMENDMENT) ACT, 2025.
-THE SUPPLEMENTARY APPROPRIATION ACT, 2025.
-THE HIDES AND SKINS (EXPORT DUTY) (AMENDMENT) ACT, 2025, etteeka eryataddewo omusolo ku maliba agafulumizibwa eggwanga nga tegongeddwako mutindo
– THE EXTERNAL TRADE (AMENDMENT) ACT, 2025.
-THE APPROPRIATION ACT, 2025, ly’etteeka erigababya ensimbi mu bitongole bya government byonna.
Mu kiro ekimalako olwa nga 30 June, 2025, eggwanga lweritandika omwaka gwebyensimbi Omuggya.
Ensimbi zonna ezisangibwa ku account zebitingole bya government ministry y’ebyensimbi eziggyako neziddayo mu ggwanika ly’eggwanga okusinziira ku tteeka eriruηηamya enkozesa y’ensimbi mu government erya the Public Finance and management Act 2015.
Abamu ku bakulembeze ba government ez’ebitundu baliko kyebagamba;
Abakulembeze ba government ez’ebitundu abatali bamu bakukuluma nti bingi byebaali baateekaeeka okukola mu bitundu byabwe tebikoleddwa olw’okuba nti ensimbi baazifuna kikeerezi, kati ziziddwayo.
Ssentebe wa district ye Kassanda Fred Kasirye Zimula agambye nti Kassanda bingi ebitakoleddwa olw’ensimbi okubaweebwa ekikeerezi ate nezizibwaayo ng’omwaka guggwako.
Dr Matia Lwanga Bwanika ssentebbe wa district ye Wakiso agambye nti ministry y’ebyensimbi ekola kyayise ekkobaane okuweereza ensimbi eri ebitongole bya government ng’omwaka gw’ebyensimbi gugwako, ate nezizaayo ng’ebitongole tebizikozesezza n’agamba nti ne wakiso ensimbi zaayo nnyingi eziziddwayo.
Gyebuvuddeko, waaliwo okukubagana empawa mu parliament ,ababaka bwebaali beebuza ensimbi ezizibwayo mu ggwanika ly’eggwanga gyeziraga, nti kubanga tezirina wezirambikibwa mu bitabo gy’eggwanga, era ensonga eno ababaka bagivaako bukungu nga teri ategedde ensimbi ezizibwaayo mu ggwanika lyeggwanga ku nkomerero y’omwaka gyeziraga n’okuwa embalirira yaazo.#