Government ya Uganda ekola butaweera okuzaawo enkolagana yaayo ne government ya German ,eyali yafunamu enjatika, oluvannyuma ly’amaggye ga Uganda okulaangimirira nga bwegaasazaamu enkolagana yaago mu byekijaasi nebyokwerinda ne government ya German.
Ng’ennaku zomwezi 25 May,2025 amaggye ga Uganda aga UPDf mu kiwandiiko gekyaafulumya ekyassibwako omukono eyali akolanga omwogezi waago Chris Magyezi, gaalangirira nga bwegaali gasazizaamu enkolagana yaago ne German mu byekijaasi nebyokwerinda ,nga galumiriza omubaka wa German mu Uganda Matthias Schauer nti okwenyigira mu bikolwa ebyokuseketerera government ya Uganda.
UPDF yalumiriza omubaka wa German Matthias Schauer nti yaliko ebibinja byabakyamu byakolagana nabyo okuseketerera government n’okutaataaganya ebyokwerinda bya Uganda.
President wa Uganda Yoweri Kaguta Museveni Tibuhaburwa yasisinkanye omubaka wa German mu Uganda Matthias Schauer era baliko ensonga zebattaanyiza eziwerako
Mu bubaka obutonotono mwami museveni bwatadde ku kibanja kye ekya X ekimanyiddwanga Twiiter agambye nti ensisinkano eno n’omubaka wa German mu Uganda, yetolololedde nnyo ku kunyweeza enkolagana mu byobusuubuzi, okusiga ensimbi ,ebyemizannyo, tekinologiya n’enkulakulana.
Mu nsisinkano eno era abakulembeze bombiriri ,batadde nnyo essira ku kyokunyweeza obwa sseruganda obubaddewo emyaka gyonna wakati w’amawanga abiri
Ebyo byonna nga tebinabaawo ababaka bomukago gwa Bulaaya mu Uganda, baagenyiwarako e Gulu ewa muto wa president Gen Saleh Caleb Akandwanaho amanyiddwanga Salim Saleh, nebemulugunya ku mudduumizi w’amaggye g’eggwanga era mutabani wa president Gen Muhoozi Kainerugaba, nti olwobubaka bwateeka ku mukutu gwe okugatta bantu, nga bagamba nti tebusaanidde.#