President wa Uganda Gen.Yoweri Kaguta Museveni azzeemu okulonda Dr. Johnson Omuhunde Rwashote Byabashaijja nga senkulu we kitongole ky’amakomera ekya Prisons mu ggwanga lyonna ku contract ya myaka 2.
Endagaano ye empya etandika okuva nga 02 May,2024.
Dr. Byabashaijja abadde mu kifo ekyo okuva mu mwaka 2005
President Museveni ng’akozesa obuyinza obumuwebwa ssemateeka azizza ekisanja kya Dr Byabashaijja obujja okuddamu okukulembera ekitongole kya makomera emyaka emirala 2.
Guno omulumdi 3 nga contract ya Byabashaija ezzibwa bujja emyaka ebiri ebiri.
Okulonddebwa kwa Byabashaijja kugidde mu kiseera ng’akyalina envumbo ezamutekebwako government ya America omwaka gwa 2023, ku bigambibwa nti ekitongole kya makomera kizze kikozesebwa okutulugunya abasibe naddala abatwalibwayo nga tebakiriziganya na government efuga eya NRM.
Byabashaijja ayogeddeko ne CBS naasuubizza okwongera okuweereza bannauganda obulungi.
Etteeka lya government eryayisibwa mu mwaka 2010 lirambika nti omukozi wa government yenna bwaweza emyaka 60 okuwebwa omulimu gulina kubeera munkola yakupatanibwa, wabula kigambibwa nti Byabashaija yawezza dda emyaka 60.
Dr. Byabashaijja yegatta ku kitongole kya makomera ki Uganda Prisons Service mu mwaka 1982 nga Cadet, era yasooka kukolera mukomera lye Kigo okumala emyaka 15 oluvanyuma nakuzibwa okulikulembera.
Wakati wa 1999 okutuka mu 2000 Byabashaija yakuzibwa era naatwalibwa ku kitebe ekikulu eky’amakomera, gyeyawebwa obwa commissioner avunanyizibwa ku Farm.
Mu 2005 yakuzibwa naafuuka ssenkulu w’amakomera.#