President Yoweri Kaguta Museveni agumizza eggwanga n’ensi yonna okutwaliza awamu nti ebyokwerinda n’obutebenkevu bwa Uganda biri ggulugulu tewali kyeralikiriza yadde.
Agambye nti obumulumulu obuliwo obwabakwata mmundu okukozesa obubi emmundu bukolebwako; nga bayita mu kwongera okutendeka abasirikale, okulondoola enneeyisa yabwe, okulongoosa embeera mwebakolera n’ebirala.
President Museven abadde mu kisaawe kyameefuga e Kololo bwabadde ayogerako eri eggwanga, mu kwogera kwe okutongole okumanyiddwanga nga State of the Nation Address, nga bwekulambikiddwa mu ssemateeka wa Uganda ennyiingo eya (101) 1.
Mu ngeri yeemu agguddewo n’omwaka ogw’okusatu mu butongole ogwa parliament ya Uganda ey’omulundi ogwe 11.
Agumizza bannauganda nti obutemu obubadde buwulirwa mu bitundu by’eggwanga ebyenjawulo, abebyokwerinda babukolako era bwakulinnyibwa ku nfeete mu bwangu tebusaanidde kweraliikiriza.
Okwogera kwa Museveni kujjidde mu kiseera nga kumpi buli wiiki wawulirwaayo omuntu akubiddwa amasasi, ng’ate ababakuba beebo abalina emmundu abalina okukuuna bannauganda n’ebyabwe; okwali omukuumi private Wilson Sabiiti eyakuba mukama we gweyali akuuma minister Charles Okello Engola.
Kalamoja;
Ku nsonga y’obutali butebenkevu mu kitundu kye Karamoja, museveni agambye nti ensonga y’ababbi bebisolo agikwasizza maanyi, era ono alagidde ebebyokwerinda nti tebaddamu okukkiriza aba Turkana n’aba Pokoti okuva e Kenya okuyingira mu Uganda n’emmundu.
Ebyenjigiriza;
Pesident Museveni alagidde amasomero ga government gayimirize mbagirawo okuggya ensimbi ku bayizi mu masomero ga government.
Museveni agambye nti enkola ya UPE ,abayizi tebalina kusasula nsimbi ,wabula abasomesa n’abakulira amasomero ago kino baakinyomoola.
Agambye nti bakyetegereza enkola ya UPE, era ebiragiro ebippya saawa yonna byakuyisibwa.
Bigenda kuweebwa abakulembeze ba government ez’ebitundu babisse mu nkola, amasomero gakomye okugyako abayizi ensimbi mu mass
omero ga government.
President agambye nti government ye yakwongera okuzimba amasomero mu bitundu gyegatali, agambye nti kyakutuukirizibwako Uganda bwenaaba atandise okusima amafuta gaayo nefuna ensimbi ezeegasa.
Amafuta;
Ekya Uganda okutuukiriza ekiruubirirwa kyayo okulaba nti etandika okusima amafuta mu mwaka 2025, Museveni alangiridde nti agenda kusisinkana abakulira ekitongole ky’eggwanga eky’amafuta saako kampuni z’amafuta okulaba nti obumulumulu obuyinza okulemesa Uganda okutandiika okusima amafuta gaayo bugonjoolwa mu bwangu.
Etteeka ly’ebisiyaga;
President Museveni akozesezza okwogera kuno nayanukula abakolokota government ne parliament olw’okubaga n’okuyisa etteeka erikangavvula abenyigira mu muze gw’obusiyazi.
Museveni agambye nti bangi bamunenya mu butanya biri mu tteeka , etteeka lyeyasaako omukono lyeryo erikangavvula abasiyazi abatumbula omuze guno mu ggwanga, sso ssi abo abenyigira mu muze guno naye nga tebagutumbula mu ggwanga.
Museveni asabye abasawo nti tebagaana abasiyazi okufuna obujanjabi ,era alangiridde nti mu mwezi gwa July, wakwogerako eri eggwanga ku nsonga z’etteeka lino abuulire eggwanga n’ensi yonna ebirikwatako.
Museveni era amenye ebintu 11 government ye by’egenda okusaako essira mu mwaka ogujja 2023/2024 okuli; okutwala mu maaso enteekateeka ya parish development model, okunyweeza ebyokwerinda n’obutebenkevu, okutandika okuzimba oluguudo lw’eggaali y’omukka ey’omulembe emanyiddwanga Standard Guage Railway.
Museveni akomekereza okwogera kwe, ng’aggulawo mu butongole omwaka gwa parliament eye 11 ogw’okusatu.
Wabula omukolo guno, ab’oludda oluvuganya government baaguzize, era obutebe obwabadde bubategekeddwa bubadde bukalu.
Akulira oludda oluvuganya government Mathias Mpuuga Nsamba yagambye nti omukolo guno gusaasaanyizibwako obuwumbi 3 okubakebera Covid 19, ezandikozeseddwa ku bintu ebiyamba bannansi mu kaseera Kano ngebyenfuna by’eggwanga tebiri bulungi.
Agamba nti ekitongole ky’ensi yonna eky’ekyebyobulamu kyalangirira nti Covid 19 takyali wamaanyi nnyo.
Mpuuga agambye nti omukulembeze weggwanga yandisinzidde mu Maka gobwa president nayogera eri eggwanga okuyita ku mikutu emitimbagano, okusinga okutuuza abantu e Kololo okusaasaanya ensimbi empitirivu bwezityo nga bakeberebwa covid 19.#