President wa Uganda Yoweri Kaguta Museveni Tibuhaburwa atadde omukono ku nnoongosereza ezaakolebwamu tteeka erifuga amagye geggwanga erya UPDF Amendment Act 2025 nga Kati lifuuse etteeka era eririndiridde okussibwa mu nkola.
Ebiwandiiko ebifulumiziddwa parliament biraze nga president etteeka lino yalisaako omukono ng’ennaku zomwezi 12 June,2025.

Ennoongosereza ezaakolebwa mu tteeka lino kuliko okuvunaana abantu babulijjo mu kkooti z’amagye eza millitary court martial, naddala abo abeeyisanga nga bannamaggye nga bambala engoye, engatto n’ebintu ebirala ebyeefananyiriza ebyamagye
Abantu babulijjo abeekobaana nebannamggye okuzza emisango egyannaggomola okuli okubba, okutta n’okwagala okuvuunika government nga bakozesa ebyokulwanyisa, awamu n’okulya munsi olukwe.
Ennoongosereza zino kinnajjukirwa nti bwezaali ziyisibwa zaaliko okusika omuguwa okw’amaanyiokuva mu b’oludda oluvuganya government.
Mu nnongosereza zino, ssentebe wa kkooti y’amagye wakuloondebwanga olukiiko olufuzi olwokuntikko olw’amagye olwa Military High Command, nga lwebuuza ku kakiiko akafuzi akalondoola essiga eddamuzi aka Judicial Service Commission.
Ssentebe wa kkooti yamaggye era wakubeera ku ddaala lya Brigadier General n’okweyongerayo okutuuka ku 4 star General, era ono kiggya kumwetaagisa okuba n’obukugu mu by’amateeka obwenkanankana n’obwomulamuzi wa kkooti enkulu mu ggwanga.
Etteeka ly’amagye omukulembeze w’eggwanga lyataddeko omukono, omuvunaanibwa mu kkooti y’amagye bwanaabanga tamatidde n’ensala ya Koooti y’amagye wakubeera n’eddembe okwekubira Omulanga mu kkooti yabulijjo ejjulirwamu Court of Appeal okutuuka ku kkooti ensukulumu
Mu mbeera yeemu, ekibonerezo ekyokuttibwa kyakusalibwangawo kkooti ensukulumu emanyiddwanga Supreme Court.
Etteeka president Museveni lyataddeko omukono, lyatonzeewo ekiwayi ekyenjawulo ekirina obuyinza n’obuvunanyizibwa obuwabula omuduumizi owokuntikko ekyatuumibwa the Joint Military Command Council ekyegasse ku Military High Command.
Ekikono kino ki Joint Military Command kyakubeera ne ssentebe nga ye mudduumizi w’amaggye nga wakumyukibwa omumyuka we, era obuvunanyizibwa bwakyo kuliko okuwabula omudduumizi w’amagye owokuntikko nga ye mukulembeze w’eggwanga ku nsonga ezitali zimu ez’amagye nebyokwerinda okuli entalo n’ebirala.
Mu tteeka lino, akabondo kamagye agakuuma omukulembeze w’eggwanga n’abantu be aka Special forces Command SFC mu butongole kasiddwa mu mateeka, ng’emyaka gyonna gyekabaddewo,kabadde tekamanyiddwa mu mateeka.
Kano kegase ku bubondo bw’amaggye obuli okuli eryokuttaka, eryomubbanga , eggye ezibizi oba Reserve Force n’obulala.