President Yoweri Kaguta Museveni Tibuhaburwa abikkudde ekyama nti ettunduttundu ku mabanja agabanjibwa eggwanga ,geewolebwa mu bukyamu awataali kuooka kwetegereza oba nga gaali geetagisa eri eggwanga.
Okusinziira ku biwandiiiko ebivabyuma, Uganda ebanjibwa amabanja agaweza trillion 86 omwezi gwa May 2023 wegwatuukira.
Wabula okusinziira ku muwendo minister w’ebyebsimbi Matia Kasaija gwayanjudde bwábadde asoma embalirira yéggwanga eya 2023/2024 , mu omwezi ogwa December 2022, Uganda yali ebanjibwa amabanja ga trillion 80 n’obuwumbi 200
President Museven bw’abadde ayogerako eri parliament okuyita ku mutimbagano gwa zoom ng’asinziira mu maka gobwa president, agambye nti oluvanyuma lw’okwetegereza ennyo, ettunduttundu ly’amabanja gano lyali teryetaagisa kwewola, wabula zeewolebwa bakozi ba government bagambye nti bakyalina endowooza y’abafuzi b’amatwale.
Museveni mwenyamivu nti ku mbalirira y’eggwanga ey’omwaka ogujja eya trillion 52 n’obuwumbi 740, ensimbi trillion 17 zigenda kusasula mabanja gagambye nti geewolebwa mu bukyamu.
Museveni anyonyodde nti oluvanyuma lwokutegeera ku nsobi eno, yasitukiramu naayisa ebiragiro nti tewali nsimbi ndala zirina kuddamu kwewolebwa nga tamanyi era nga taziyisizza.
Museveni agambye nti kati ky’ekiseera okwewola ekitono oba okwesoonyiwa ebyokwewola,wabula aneenyezza ekitongole ki URA nti tekikoze kimala okukungaanya omusolo ogumala ogwanditaasiza Uganda okulya amabanja.
Museveni awabudde bannansi okukozesa enteekateeka government zetaddewo okuli ebyokwerinda ebinywevu okuleetawo enkulakulana mu ggwanga,baleme kutunuulira government nti yerina okubawa ensimbi okubaako byebatandika.
Museveni nga lwerunaku lwe olusoose okulabikako eri eggwanga ku TV, okuva lweyazuulwamu Covid19 wiiki nnamba eyiseewo, yebaazizza bannayuganda olwokumusabira naagamba nti esaala zabwe n’okwagala kwebamulaze, kumuyambe okumanya nti wakyaliyo abamwagala sso ssi ebyogerwa abalabe be nti eggwanga lyamukoowa.
Museveni agambye nti agenda kufunayo obudde ng’awonye bulungi ayogereko eri eggwanga ku nsonga za covid19 nti kubanga kati mukugu nnyo engeri gyamulwaddeko.
Ku mukolo gw’okusoma embalirira y’eggwanga ogubadde e Kololo ,emikolo gyonna omukulembeze w’eggwanga gyalina okukola okuli okulambula ennyiriri z’abasirikale n’abajaasi, gikoleddwa omumyuka we Rtd Maj Jessica Alupo ,wabula Ono talina yadde ekigambo kyonna kyayogedde ku mukolo ogwo
Minister wébyensimbi Matia Kasaija asomye embalirira ya trillion 52.7.