Banna byamizannyo abegattira mu kibiina kya Real Stars Sports Agency, balonze omuvuzi w’emmotoka z’empaka Ponsiano Lwakataka Mafu Mafu, nga omuvuzi w’emotoka z’empaka asinze omwezi oguwedde ogwa January 2025.
Ponsiano Lwakataka okutuuka ku buwanguzi buno yawangudde empaka za Mbarara Rally Championships ezabadde mu bitundu bye Mbarara, era empaka zino zezasoose ku calendar y’omwaka 2025 eya National Rally Championships.
Mu kuwangule empaka za Mbarara Rally Championships, Ponsiano Lwakataka yali wamu n’omusomiwe owa map Paul Musaazi mu motoka ekika Subaru Impereza N12.
Lwakataka okuwangula engule y’omwezi oguwedde, amezze bavuzi banne okubadde Ronald Ssebuguzi eyakwata ekifo eky’okubiri mu mpaka za Mbarara Rally Championships, ne Nasser Mutebi eyakwata ekifo eky’okusatu.
Mu mizannyo emirala, mu bikonde Alfred Ajok yawangudde, ate mu muzannyo gwa Kho Kho Grace Ojiru yawangudde, era abawanguzi bonna baweeredwa engule n’ensimbi enkalu okubasiima.
Bisakiddwa: Isah Kimbugwe