Poliisi erangiridde ebikwekweeto byettaka mu nkola ya Operation Wembly, ku bantu abanyaga ettaka lyabantu ,okumalawo okunyigirizibwa kwabananyini ttaka okwetoloola eggwanga okweyongera buli lunaku.
Ebikwekweeto bino birangiriddwa ayogerera poliisi enoonyereza kubuzzi bwemisango Charles Twiine ku Media center mu Kampala, bwagambye nti kino kigenda kukolebwa olwobukumpanya obuzze bweeyolekera mu bantu abamu abazze befuula nti balwaanira ettaka, era bano bazze balemesa okunoonyereza kwa poliisi.
Twiine agambye nti ebikwekweeto bino byakutandikira mu bitundu omuli Ntebbe, kubanga wewasinga obukundi bwababbi bettaka obutataaganya okunoonyereza.