
Police mu Kampala mu kiro ekikeseza olwaleero ekutte ssabawandiisi wékibiina Kya NUP David Lewis Rubongoya bwabadde ava ku Tv emu Kampala ekiro ekikesezza olwaleero.
Rubongoya akwatiddwa ne munna mawulire omu akwata amawulire gékibiina kino naye nga ekigendererwa ekibakwasiza tekinaba kumanyika.
Abakulembeze mu kibiina kya NUP bagamba nti okukwatibwa kwábantu baabwe kabonero akagaala okubaatiisatiisa okubaggya ku mulamwa.
Wabula abakwate oluvanyuma batereddwa ku kakalu ka Police.
Cbs bwetuukiridde Patrick Onyango ayogerera police mu Kampala némiriraano agaanye okubaako nekyayogera ku nsonga eno.