Ssaabaduumizi wa police Martin Okoth Ochola aliko license z’ebitongole byebyokwerinda ebyobwannannyini eziwera 39 zaasazizzaamu, olw’okulemererwa okutuukiriza ebisaanyizo ng’amateeka bwegalagira.
Buli mwaka ebitongole byébyókwerinda birina okwanjula mu police enteekateeka zémirimu zaabyo eri police buli mwaka, nga byesigama ku tteeka erifuga ebitongole bino akawaayiro NO. 14 (d) Police PSO regulations 2013.
Ebimu ku bisaanyizo ebiteekeddwa okutuukirizibwa buli kitongole ky’ebyokwerinda ekyobwannannyini, kuliko; Ebbaluwa ya NSSF, Obukakafu nti emmundu zebalina bazirina mu mateeka era baasasula omutemwa gwazo, Obukakafu nti balambulwa buli mwaka okwetegereza enkola y’emirimu n’ebirala.
Mu kiragiro kino, Ssaabaduumizi alagidde ba DPC bonna okukakasa nti kampuni eziyimiriziddwa zissa mu nkola ekiragiro, era n’okukakasa nga zonna zijjibwako emmundu n’ebirala byonna ebigwa mu kkowe eryo.
Ezimu ku kampuni eziyimiriziddwa kuliko Aza security company limited, Wink Warriors ltd, Detective agency ltd,Tracker Uganda ltd, Premier security system ltd,Alpha guard security services solid security services ltd nendala nyingi, ziragiddwa ziweeyo emmundu zonna zezibadde zikozesa awatali kulekayo neemu.
Kizuuse nti kampuni 39 eziyimiriziddwa zibadde zimaze kati omwaka gumu n’ekitundu nga tezituukiriza mateeka n’Obukwakkulizo, nga bweguli mu tteeka erifuga enkozesa y’emmundu mu bitongole byabakuuma ddembe eby’obwannanyini.
Guno ssigwemulundi ogusoose police okuyimiriza emirimu gya kampuni ezigaanye okutuukiriza obuvunaanyizibwa bwazo, era wakyaliwo kampuni nyingi ezaayimirizibwa edda.
Okuyimirizibwa kwa kampuni zino kulese abakozi abali eyo mu 5000 nga tebalina mirimu webakolera, era tewali mukozi amanyi kigenda kuddirira.
Amyuka omwoogezi wa poliisi mu ggwanga Polly Namaye agambye nti ekiragiro kitandikiddewo okukola, mu kaweefube wa police ow’okulondoola enkozesa embi ey’emmundu eyeyongedde mu ggwanga.
Polly Namaye agambye nti n’ebitongole ebirala abyateekayo okusaba kwabyo okuzza obuggya license zaabyo, tebikkirizibwa kutandika kukola okujjako ng’obukwakkulizo bwonna bibutuukirizza.
Mu mbeera eno aduumira ebikwekweto mu police aliko olukalala lw’ebisaanyizo byaweerezza ebitongole byebyokwerinda byonna ebyobwannannyini okukakasa nga bigobererwa bulungi.
Mu bisaanyizo bino, buli mu serikale ow’obwannannyini kumukakatako okusooka okuyisibwa mu kutendekebwa okutuufu, mu kaweefube w’okugogola n’okutereeza ebyokwerinda bya banna Uganda nga baggyamu abaserikale bonna ab’ekiboggwe.
Bonna okugabibwa nga gyebalina okukuuma, bateekeddwa okusooka okulaga obukakafu nti ddala batendekeddwa okutuuka ku mutindo.
Bisakiddwa: Kamulegeya Achileo K ne Kato Denis