Abasirikale ba police 13 kw’abo abaali mu kabinja k’abasirikale okuva mu bitongole ebikuuma ddembe ebyenjawulo ebyazingako amaka ga Sheik Yunus Kamoga agasangibwa e Kawempe Ttula mu ggombolole ye Kawempe bayimiriziddwa ku mirimu , bakuvunaanibwa emisango egyekuusa ku bisiwufu.
Waliwo akatambi akaafulumizibwa akalaga abasirikale bano nga batulugunya abamu ku bantu bebasanga mu maka ga sheik Kamoga.
Akatambi kalaga abasirikale nga bawewenyula emiggo abavubuka bebaasangayo, okubakuba ensambaggere, n’okubalagira okwewalula mu ttaka ekintu ekyavumirirwa ebitongole ebirwanirira eddembe ly’obuntu.
Gyebuvuddeko ebitongole ebikuuma ddembe ebirwanyisa obutujju okuli aba JATT ne CMI baazingako amaka ga Sheik Yunus Kamoga oluvanyuma lw’abamu ku bazadde okwemulugunya, nti abaana babwe batwalibwa mu maka gano nga tebatezegeddwako.
Fred Enanga ayogerera policeya Uganda agambye nti newankubadde abasirikale bano tebaamenya mateeka bwebaali bayingira mu maka ga Sheik Yunus Kamoga, nti naye kyali kikyamu abasirikale babwe okusiwuuka empisa okukuba abantu era bagenda kuvunanibwa mu kkooti ya police ku lwokusattu lwa wiiki eno.
Wabula Fred Enanga ategezezza nti okuzingaako amaka ga Sheik Yunus Kamoga tekitegeeza nti ebitongole ebikuuma ddembe bitulugunya abasiraamu, naye kigendereddwamu okulwanyisa ebikolwa ebyekuusa ku butujju.
Agambye nti kino kyesigamizibwa ku ky’okuba nti mu maka ga Sheik Kamoga wasangibwayo abantu 45 abaali bava mu mawanga agenjawulo okuli Rwanda ne Democratic Republic Congo, era nga Sheik anonyerezebwako ku misango egyekuusa ku kukusa abantu.
Ku bantu bano 45 abaasangibwa mu maka ga Sheik Kamoga, 17 ku bbo baziddwayo mu benganda zabwe.
Fred Enanga ategezeza nti bagala Sheik Yunusu Kamoga anyonyole kweyasinziira okukuumira abaana mu maka ge nga bazadde be tebamanyi, wabula n’okutuusa kati tanagendayo kukola sitatimenti wadde nga yayitibwa.
Gyebuvuddeko Sheik Kamoga yatuuza olukungaana lw’amawulire mweyategeereza nti ekifo ekyo mwebaasanga abantu abo nga bonna bavubuka, kirabirira abantu abetaaga okubudaabudibwa ku nsonga ez’enjawulo, era nti omulimu guno agukoledde ebbanga lya myaka egisoba mu 40.
Bisakiddwa: Mukasa Dodovico