Police ya Uganda ng’ekolagana n’ebitongole by’ebyokwerinda ebirala bagumizza banna Uganda n’abakkiriza abaneetaba ku mikolo gy’okulamaga ku Kiggwa n’Ekijjukizo ky’Abajulizi e Namugongo nti ebyokwerinda byabwe binywezeddwa.
Abalamazi beyongedde okutuuka mu bifo by’abajulizi okuli e Bulooli Namugongo, Nnakiyanja Namugongo, Mamre Prayer Cetre wamu ne ku muzikiti.
Omwogezi wa police mu ggwanga Fred Enanga, agamba nti newankubadde abasinga abagenda e Namugongo bagendayo olw’okukkiriza n’okusaba, nti naye era muyinbza okwerimbikamu abakyamu.
Enanga agambye nti ku lunaku olwa 3 June basuubira abantu abakunuukiriza mu kakadde kalamba, kale nga tebayinza kwesuulirayo gwa nnaggamba ku nsonga y’obukuumi bw’abantu abo bonna.

Abalamazi abasoba mu 10,000 batuuse e Namugongo okuli n’ekibinja ekinene ekivudde mu busumba bwe Jinja, abaakamala ennaku 4 mu kkubo nabo basemberedde okuyingira ku biggwa by’abajulizi.
Abe Jinja bebagenda okukulemberamu emikolo gy’abajulizi e Namugongo ku ludda lw’abakatuliki, ate ku ludda lwa Anglican obulabirizi bwe Bukedi bwebukulembeddemu emikolo.
Enanga asabye abalamazi na bonna abaneetaba ku mikolo gino okubeera obulindaala olwokwekuuma bakyala kimpadde n’abantu ababi ab’engeri endala zonna ate n’okubeera n’ebiwandiiko ebiboogerako ng’endagamuntu n’ebirala.
Police mu mbeera eno emalirizza okwetegereza ebifo byonna era ne Camera lumamyo mulengera zaasimbiddwa dda mu bifo okwekenneenya n’okulondoola embeera.
Police erabudde nti ebintu omuli ebyokulwanyisa ng’emmundu n’ebbissi ebirala byonna tebikkirizibwa mu bifo bino, ebisolo byonna okuggyako embwa zabwe zokka, eggaali ez’engeri yonna, bbaaluuni, Camera za Drone, obucupa bw’obuwoowo n’ebirala bingi biwereddwa.
Poliisi etaddewo n’ennamba z’essimu omuntu yenna eyeetaaga obuyambi zaasobola okukubako n’ayambibwa; 0800199699, 0707600773 oba 0776999136.
Bisakiddwa: Kamulegeya Achileo K