Police e Jinja ekutte omusajja
Nyanzi mwezi David abadde yefudde omulalu mu kibuga Jinja, nga kigambibwa nti mutujju w’akabinja ka ADF.
Omwogezi wa police mu Kiira region James Mubi agambye ntu Police okumukwata emusanze ku Iganga road ng’ayambadde ebigoye ebiddugala nga biyuliseyulise, nga bwagenda alonda kasasiro ku luguudo.
Kigambibwa nti Nyanzi abadde yakava e Congo, era nga mu kiseera kino akuumibwa ku kitebe kya police ekya CPS e Jinja, era basuubira okwongera okubawa amawulire agakwata ku bantu babadde akolagana nabo.#