Abantu 66 bebasuunsuddwa okuvuganya mu kazannyo ka Bbingwa wa Mabbingwa ne Bbingwa Boda owa 2026, ategekebwa CBS.
Akulira ekitongole ekitwala ebyemizannyo ku CBS Ntambi James yeebazizza buli muntu eyetabye mu nteekateeka eno.
Empaka zino zaakutandika nga 20 omwezi ogujja ogwa July,2026 oluvanyuma lwa World Cup, nga wakubeera mu studio zaffe eza CBS Emmanduso ng’abavuganya baddamu ebibuuzo ebikwata ku by’emizannyo egyenjawulo
Abasinze okwewandiisa mu mpaka zino be bagoba ba BODABODA mu Kampala n’emiriraano era nga bano bagamba nti ekibaleese mu bungi kwekukoowa bodaboda za Loan.
Abagoba ba Bodaboda bano bebaziza Radio y’Omutanda olw’okubalowozaako nebagya mu mpaka zino nga CBS ejaguza emyaka 30 mu nsiike, era bangi bawera okusitukira mu pikipiki empya.












