Ekitongole ekivunanyizibwa ku bibuuzo ekya Uganda National Examinations Board (UNEB), kikakasizza nti abayizi akakadde kamu n’emitwalo 527,867 bebagenda okutuula ebibuuzo eby’akamalirizo omwaka guno 2026 ku mitendera gyonna 3 okuli ogwa P7, S.4 ne S.6.
Abayizi bano beeyongeddeko n’ebitundu 7.3%, okugerageranya ku muwendo gw’abayizi abaatula omwaka oguwedde 2025, ng’omwaka ogwo baali abayizi akakadde kamu n’emitwalo 416,307.
Mu alipoota ya UNEB, efulumiziddwa ayogerera ekitongole, Jennifer Kalule-Musamba, eraze nti nsalessale w’okuwandiisa abayizi abanakola ebyakamalirizo wakubaawo ku Tuesday nga 30 June,2026 era abanaaba tebewandiisizza bakukubwa engassi.
Okusimziira ku UNEB, abayizi ku mutendera gwa P.7 abagenda okutuula ebya PLE, basasula emitwalo 34,000, aba S.4 abagenda okutuula ebya UCE basasula emitwalo 164,000 sso nga aba S.6 abagenda okutuula ebya UACE basasula emitwalo 186,000.
UNEB egamba nti okusukka nga 30 June abanaaba tebewandiisizza engassi yaabwe yakwekubisaamu emirundi 2 ,era abazadde naabasomesa basabiddwa okumaliriza ensonga eno nga bukyali.
Jennifer Kalule Musamba ayogerera UNEB, agambye nti tebagenda kuttira muntu yenna ku liiso anaaba tawandisizza mwanawe mu kiseera kino ekibawereddwa, era nti kaakano omulinu UNEB gwetandiseeko kwekwetegereza ebikwata ku bayizi abawandisiddwa nebyebeetaga okukola ebibuuzo byabwe.
Alabudde amasomero agasussizza okusaba abazadde ensimbi ezisukiridde nga beekwasa nti za UNEB, nti bwebanakwatibwa bakutwalibwa mu mbuga.
Kalule Musamba amasomero agasabye okuwanika enkalala zaabo abawandiisiddwa ku mbaawo z’amasomero, abazadde bazirabe baleme okulinda akadde akasembayo ng’abaana baabwe tebewandiisizza kutuula byakamalirizo.
Bisakiddwa: Ddungu Davis












