Akakiiko kebyokulonda mu kibiina ki NRM katandise okubaga ennambika okunatambulira akamyuufu k’ekibiina okujjuza ebifo by’ababaka ba parliament y’omukago gwa East Africa ebyaalimu omubaka James Kakooza ne Denis Namara
Ebifo bino byasigala nga bikalu oluvanyuma lw’ababaka bano ababiri okusuulawo ebifo ebyo, nebeesimbawo mu kalulu k’ebifo bya parliament ya Uganda.
Ofiisi ya kalaani wa Parliament Adolf Mwesigye erangiridde ennaku zomwezi 09 ne 10 July, parliament kwenaasunsulirako abagala okuvuganya ku bifo ebyo.
Wabula kalaani wa Parliament arambise nti ekibiina ki NRM kyokka kyekirina okwenyigira mu nteekateeka eno, kubanga ababaka Denis Namara ne James Kakooza baali ba NRM.
Ambassador James Kinobe abuulidde CBS nti akakiiko ka NRM kagenda kutuula okufulumya enteekateeka enatambulirako ensonga yokuddamu okujjuza ebifo ebyo.#











