Abantu abaliko obulemu ku bwongo obumanyiddwa nga Celebral Pulsy mu bendobendo lye Masaka bekubidde enduulu eri abakwatibwako, babateerewo enkola ezinaabayamba okutuusibwako obuweereza obwenjawulo, mu kifo ky’okubasososola olw’embeera zabwe.
Bagamba nti abantu abalina obuzibu buno tebafiibwako olw’okuba ng’obwongo bwabwe bukola mpola mpola, bagamba nti basosolwa nnyo nebatuuka n’okummibwa omukisa gw.okusoma.
Obulemu bwa Celebral Pulsy omwana asiinga kubufuna nga akyali mu luboto lwa nnyina, abalala nga baakazaalibwa ekiva ku bwongo okukula empola, nekibaviirako n’ebitundu by’omubiri ebirala okukosebwa, abamu balemererwa okutambula, abalala teboogera, abalala bafufunyala mu ndabika yabwe ku maaso n’ebirala.
Kanamugira Eddy ssentebe w’abalina obulemu buno mu Buddu,asinzidde ku Tropic Inn Gardens mu Masaka City nebanne, munsisinkano nabakulembeze ba division ya Nyendo Mukungwe, nategeeza nti abantu abakunukkiriza 300 e Buddu abalina obulemu bwa Celebral Pulsy ebibasomooza bonna byebimu nga betaaga abakulembeze okubakwasizaako.
Agambye nti baatandikawo ekibiina kyabwe emyaka 5 egiyise okubayamba okutuuka ku bantu abenjawulo abasobola okubayamba okukola kubibalemesa okubaako byebakola okwekulaakulanya.
Kanamugira agambye nti basosolwa, ewaka bakwekebwa, banji tebafunye mukisa gusoma, nga ate abakulu ne mu nteekateeka za government ez’okwekulaakulanya eza Parish Development Model baboolebwa olw’enkula yabwe n’enfaanana.
Mayor wa Nyendo Mukungwe Robert Kasekende ategezezza, nti bagenda nakutandika n’ensonga ezze eyanjuliba abantu abaliko obulemu, ey’ebizimbe ebitalina bifo bisobola kwabanguyizaako kutuuka wali buweereza.
Agamye nti bagenda kuyisa etteeka, nga tewali aweebwa plan yakuzimba kizimbe nga tekirina baliko bulemu webayingirira, oba kabuyonjo z’abaliko obulemu.
Bisakiddwa: Mubarak Ssebuufu Junior












