President wa Uganda Gen. Yoweri Kaguta Museveni Tibuhaburwa alonze Minister omubeezi ow’ebyejigiriza avunanyizibwa ku matendekero agawaggulu Dr. JC Muyingo okugira nga akolanga minister omujjuvu ow’ebyejigiriza.
Okulondebwa kwa Dr JC Muyingo, President Museveni akuyisizza mu kiwandiiko ekifulumiziddwa amaka g’obwa President.
Mu kiwandiko kino Museveni agambye nti Minister JC Muyingo atandikirewo emirimu.
President Museveni walondedde Dr. JC Muyingo, nga minister w’ebyejigiriza era mukyala we Janet Kataaha Museveni amaze akabanga nga talabikako mu lujjudde, omuli n’okusubwa emikolo emikulu oluusi gy’abadde atera okubeerako.
Mu gimu ku mikolo Janet Kataaha Museveni gyatalabiseeko mwemuli okulayira kwa President Museveni ku kisanja kya 2026-2031 ogwali e Kololo, saako ogw’okusoma embalirira y’e ggwanga n’emirala.
President Museveni yagambye nti mu mwezi ogwokusatu 2026, sitaani yalumba mukyala we, nti kyokka sitaani teyategeera nti olunaku lweyamulumbirako Museveni alurinako ebyafaayo.
President yagambye nti mukyala we agenda okuba ku matu, era nga byabadde mu bubaka obwenjawulo bweyamuweerezza ng’amwagaliza amazaalibwa ag’emyaka 78 amalungi era ag’ebibala.
Kinajjukirwa nti era President yalonze Minister Kyeyune Haruna Kasolo okugira ng’akola nga minister omujjuvu avunanyizibwa ku ensonga za mawanga amalala.
Minister eyali alondeddwa mu kifo ekyo Adonia Ayebare kyazuulibwa nti alina obutuuze bwa mirundi ebiri okuli America ne Uganda ekikontana ne ssemateeka wa Uganda.#











