Akakiiko k’ebyokulonda mu district ye Kalangala kalangiridde munna kibiina kya NRM Idah Nabayiga nga yawangudde akalulu k’okuddamu okulonda omubaka omukyala owa district ye Kalangala.
Akakiiko Kano kalangiride omuwanguzi ku saawa munaana ogw’ekiro ekikeesezza nga 25 June,2026 wakati mu by’okwerinda eby’amaanyi.
Idah Nabayiga afunye obululu 12,642,addiridwa Irene Nampala owa NUP afunye obululu 7,474,Babirye Sharifah atalina kibiina afunye obululu 244,Nagawa Hellen afunye 217 ne Nasuuna Agnes nga talina kibiina kwajide afunye obululu 34.
Atwala ebyokulonda e Kalangala Agaba Ronald alangiridde munna NRM ku buwanguzi, naategeeza nti akalulu kabadde kamazima nabwenkanya.
Ekifo kino kyalimu Hellen Nakimuli owa NUP eyakirimu okuva mu kalulu ka 2021, naddamu naakiwangula mu 2026, wabula naafa nga 19 April,2026 nga yali tanalayira.#












