Munnamateeka era omukulembeze w’ekibiina ky’ebyobufuzi ki Peoples Front for Freedom Ssaalongo Elias Lukwago aweereddwa ekitanda mu ddwaliro ekkulu e Mulago, atwaliddwayo ekitongole ky’amakomera.
Omulamuzi wa kkooti ento e Makindye Sarah Basemera yeyakiragidde kimutwale mu ddwaliro e Mulago ajjanjabibwe, oluvannyuma lw’okugaana okumuyiimbula ku kakalu ka kooti bannamateeka be nga bwebaali basabye olw’okuba omukosefu.
Munnamateeka wa Ssaalongo Elias Lukwago, Owek Medard Lubega Ssegona agambye nti abamu ku basawo abakugu abalina okwekebeggya Lukwago tebabaddewo kwekumuwa ekitanda, era nategeeza nti abadde mugonvu nnyo nga n’essaala azetaaga.
Government yaggula emisango ku Erias Lukwago egy’okusirikira amawulire golukwe lwokuvuunika government, ng’erumiriza nti lwali lukulembeddwamu Rtd. Col.Dr Kiiza Besigye nemunne Hajji Obed Lutale nabalala
Lukwago bwaatyo yawambibwa amagye okuva mu Makaage e Wakaliga, naabuzibwawo okumala ennaku 2, oluvanyuma naatwalibwa ku Police ye Kira road oluvannyuma lw’ennaku 2 nga police egamba nti temanyi gyali.
Bannamateeka be bagamba nti yasooka kutulugunyizibwa n’okumukozesa dduyiro gweyali tasobola, olw’obukosefu bw’omubiri gwe oluvannyuma lw’okulongoosebwa enkizi.#












