Police mu Kampala n’emiriraano eriko abantu 5 bekubye amasasi gattiddewo 4, nga kiteberezebwa nti babadde mu lukwe lw’okubba ensimbi mu Stanbic Bank ku Acacia Mall e Kamwokya.
Omwogezi wa police mu Kampala n’emiriraano Patrick Onyago agambye nti abakubiddwa amasasi bazingiziddwa mu bitundu okuli Kamwokya, Kasasiro zone ne Mawanda road.
Onyango ategezeza nti sibakuwa bbeetu babbi kwegiriisiza mu ggwanga nakumalako bantu mirembe.#