Mu mpaka z’ebika by’Abaganda eza 2026, tiimu zonna ezatuuse ku fayinolo mu mpaka ez’omupiira ogw’ebigere n’okubaka, ewamu ne ttiimu zonna ezigenda okulwanira ekifo eky’okusatu, zikkiriziganyizza ku birina okugobererwa ku mipiira egy’akamalirizo.
Olukiiko lutudde ku kisaawe e Wankulukuku, nga lukubiriziddwa akulira emirimu gy’ekikugu ku lukiiko oluteekateeka empaka zino Kabugo Mansoor.
Kikakasiddwa nti mu mupiira ogw’ebigere ogwakamalirizo, bazzukulu ba Mugema abe Nkima bagenda kwambala omujoozi ogwa kakyungwa esaati n’empale eza blue omukwafu.
Bazzukulu ba Nankere abe Mamba Kakoboza bagenda kwambala esaati enjeru n’empala eza blue owa mazzi.
Omupiira guno gujja kutandika ku ssaawa 9 ez’olweggulo nga 06 Muzigo,2026, era gujja kuwerezebwa buterevu wano ku CBS.
Wabula ku ssaawa 4 n’ekitundu ez’okumakya wakusookawo omupiira ogw’okulwanira ekifo eky’okusatu wakati w’Engo ng’ettunka ne Kkobe.
Mu mbeera yeemu olukiiko oluteesiteesi era lutaddewo omupiira ogw’okusanyusa abantu ba Kabaka abagenda okujja e Wankulukuku, nga gugenda kubeera wakati wa bakozi ba CBS ne BBS nga battunka ne ba Tik Toka kussaawa 6 n’ekitundu ez’omuttuntu.
Mu mbeera yeemu mu mpaka ez’okubaka, omupiira ogw’akamalirizo gugenda kubeera wakati wa bazzukulu ba Katongole abe Nte nga battunka ne bazukulu ba Gabunga abe Mamba ku saawa 6 ez’omuttuntu.
Ennyonyi e Nnyange egenda kuttunka ne Ngabi Ensamba kussaawa 4 ez’okumakya.
Okuyingira mu kisaawe e Wankulukuku kwa shs omutwalo 10,000 ne 20,000 nga abaana bakuyingirira bwereere.
Bazzukulu ba Nsamba ab’Engabi be bannantameggwa b’empaka ezakasembayo eza 2025 mu mupiira ogw’ebigere, ate Ennyonyi e Nnyange be bannantameggwa b’empaka eza’okubaka.
Bisakiddwa: Isah Kimbugwe













