Olukiiko olufuzi olw’ekibiina kyebyobufuzi ki Forum for Democratic Change FDC lulonze eyali omubaka wa Makindye East Ibrahim Kasozi Biribawa, okubeera omumyuka wa President w’ekibiina kino atwala ebendobendo lya Buganda
Ibrahim Kasozi aze mu bigere bya munnamateeka Yusufu Nsibambi eyali omumyuka wa President wa FDC mu Buganda, kati yagenda mu kibiina ki NRM.
Ibrahim Kasozi ebyobufuzi by’ekibiina ki FDC abimazeemu ebbanga eriwera okuviira ddala nga mu buvubuka, era bebamu ku bavubuka abato, abaatandiikira mu Reform Agenda oluvannyuma eyavaamu FDC.
Ibrahim Kasozi oluvanyuma lw’okulondebwa asuubizza nti omulimu omunene gwabakanye nagwo kwekuddamu okuzimba ekibiina wekibadde kirina obunnaffu, okukyagazisa bannauganda.#













