Ba minister 80 kwabo 82 abaalondebwa omukulembeze we ggwanga ku ntandikwa y’ekisanja ekya 2026/2031 bebayise mu kasengejja k’okusunsulwa parliament mu okuyita mu kakiiko aka appointments committee.
Omulimu guno gututte ennaku bbiri nga gukolebwa ku parliament, era gugenze okufundikira nga ba minister 2 tebasunsuddwa.
Minister omu tasobodde kulabikako eri kakiiko wabula nga yakawandiikidde naakategeeza, ate owokubiri tasobodde kuyita mu kasengejja ngera ono akakiiko kagenda kuwandiikira omukulembeze w’eggwanga eyamulonda ku bimulemesezza okuyita mu kasengejja, wabula nga bombi bano amannya gabwe gasirikiddwa.
Bwabadde ayogerako eri bannamawulire oluvannyuma lw’okusunsula kuno Amyuka Speaker wa Parliament Thomas Tayebwa kulwa Sipiika ategeezezza nti ku ba Minister 80 abasunsuddwa, omu ayise ku mukutu gwa zoom.
Ate ku nsonga za ba minister ababaddeko akabuuza ku butuuze bwabwe, agamba bano basazeewo okusigala nga bannauganda abajjuvu obutuuze bwe nsi endala nebabusazaamu.
Wabula akulira oludda oluwabula government mu parliament Joel Ssenyonyi nga naye atuula ku kakiiko kano akasunsula ayagala wabeewo enoongosereza mu mateeka, akakiiko kano akasunsula ba Minister katandike omulimu guno okugukolera mu lujjudde, kyagamba nti kyakuwa bannauganda obumativu kwebyo ebikolebwa mu kusunsula kuno.
Abamu ku minister abasunsuddwa ku lunaku olusembeyo kuliko minister omubeezi mu ministry ye bye nsimbi n’okuteekerateekera eggwanga Cissy Mulondo, Minister omubeezi owebyengiriza ebya waggulu John Chrizestom Muyingo, kko Minister omubeezi ow’ebyobulambuzzi Suzan Nakawuki n’abalala.
Ye eyalondeddwa kukya Minister omubeezi ow’ensonga z’omunda mu ggwanga Dr Lawrence Muganga atangazizza ku butuuze bwe wano mu Uganda wadde eggwanga lye ng’omuntu Munyarwanda, nti ye mutuuze wa Uganda omujjuvu, mwakulidde ne bazadde be mwebaazikibwa.
Minister omubeezi ow’ebyempuliziganya Joyce Nabbosa Ssebugwawo agambye nti ministry eno essira eritadde ku kwongera amaanyi mu bya tekinologiya kko n’okulwanyisa ebikolwa ebyenguzi.
Abalala abasunsuddwa olwaleero kwekuri minister owa micro finance Sharts Musherule Kuteesa, Charles Ayume minister omubeezi ow’ebyobulamu ebisookerwako, Aminah Mukalazi minister omubeezi owaguno naguri, Aisha Ssekindi minister omubeezi ow’amazzi n’obutonde bwensi, minister omubeezi mu ministry ye byettaka Margret Muhanga n’abalala.
Bisakiddwa: Edithie Nabagereka













