“Banna Uganda mwewale enjawukana mu mawanga, mu byobufuzi n’ebirala, bakolere obumu ng’abajulizi bwebalina mu myaka gya 1880, nebatuuka n’okugumira okuttibwa olw’eddiini, olwo nebasiimba emirandira gy’okukkiriza mu Uganda okutuuka kaakano” – Ssaabalabirizi w’ekkanisa ya Uganda, The Most Rev. Dr. Samuel Steven Kazimba Mugalu
Ssaabalabirizi yakulembeddemu okubuulira ku kiggwa ky’abajulizi e Namugongo, mu kusaba okubaddemu abantu abatasusse 200, olw’ebiragiro bya government ebyayimiriza okulamaga kw’abantu abangi nga bwegubeera bulijjo, n’ekigendererwa eky’okuziyiza okusaasaana kw’obulwadde bwa Ebola.
**********************************************
“Bannauganda mulabire ku bajulizi ba Uganda muyige okutegekera emirembe egyiddako, muleme kwefaako mwekka na mwekka” – Omulabirizi wa Mityana Ssaalongo James Bukomeko
Omulabirizi Bukomeko yakulembeddemu okusaba ku lunaku lw’abajulizi mu kusaba okubadde mu kanisa e Namukozi.
**********************************************
“Ekizibu mu ggwanga kati ge maka agatakyalimu ddiini n’okufaayo kw’abazadde ku bugunjufu nga bwegwalinga edda, nga ebiro bino buli muntu yefaako yekka nambuto zabwe” – Ssaabasumba Paul Ssemogerere
Ssaabasumba yakulembeddemu okusaba ku lw’abajulizi mu missa abadde mu Lutikko e Lubaga.
**********************************************
“Technology ebigendererwa ebyamuleeresa kwekutereeza enkola y’emirimu egyenjawulo, naye kati obuzibu obuzze be bantu abakozesa technology okubba, enguzi n’obulyake. Ebyo abajulizi abaafiirira eddiini eno tebandibiwagidde nakato. Kale nno bannange ababikola mweddeko ” Omusumba wa Kiyinda Mityana Dr. Anthony Zziwa
Omusumba Anthony Zziwa yaakulembeddemu okusaba mu lutikko ya Kiyinda Mityana okujjukira abajulizi ba Uganda nga 03 June,2026.












