Uganda ekakasiddwa okutegeka emizannyo gya African Games egy’omwaka 2031, oluvanyuma lw’okumegga Nigeria bwe babadde baateekamu okusaba okw’okutegeka empaka zino.
Ekibiina kya African Union kye kikakasiza Uganda okutegeka emizannyo gino, nga gibadde gyakoma okutegekebwa mu mawanga ga East Africa mu 1987 Kenya lweyategeka.
Emizannyo gino egya African Games, nga mu kusooka gya giyitibwa All African Games, gitegekebwa buli luvanyuma lwa myaka 4, ng’amawanga gavuganya mu mizannyo egyenjawulo.
Uganda bwe yali eteekamu okusaba kwayo okutegeka emizannyo gino, yeesigama ku mirimu egikolebwa mu kwetegekera empaka za Africa Cup of Nations ez’omwaka ogujja 2027, Uganda zegenda okutegeka nga ekolagana ne Kenya ne Tanzania.
Uganda yatekamu ebisaawe okuli Namboole ne Hoima City Stadium.
Mu mizannyo egyasembayo mu 2024 mu Accra Ghana, Uganda yawangula emidaali 20 okwali egya zaabu 4 egyawangulwa ttiimu y’eggwanga eya Rugby Sevens eya abasajja n’ey’abakazi, omuvuzi w’eggaali Charles Kagimu, n’omudaali ogwa badminton mu Women’s Double eri Husina Kobugabe ne Gladys Mbabazi.
Bisakiddwa: Isah Kimbugwe













