Akakiiko ka parliament akakuba ttooki n’okusunsula abakulu President Museveni babeera awadde obukulu, kamalirizza okusunsula governor wa banka enkulu ey’eggwanga Dr. Micheal Ating-Ego n’omumyuka we Prof Augustus Nuwagaba.
Abakulu babuukeereza enkokola okugenda ku parliament okugasimbagana n’akakiiko ka parliament kano mu nsisinkano akatakkirizibwamu bannamuwulire.
Sipiika wa Parliament Annet Anita Among yaakubiriza ensisinkano eno, mu lutuula olwetabiddwamu omumyuka we Thomas Tayebwa.
Obubaka obufulumiziddwa parliament oluvannyuma lw’ensisinkano y’akakiikko kano bunyonyonyodde nti alipoota evudde mu nsisinkano eno, egenda kuweerezebwa eri president Museveni asalewo ekiddako, oba batandiika emirimu oba nedda.

Dr Ating Michael Ego, governor omulonde, yaabadde omumyuka wa governor okuva mu mwaka 2020, nga yadda mu bigere bya Louis Kasekende.
Okulondebwa kwa Dr. Michale Ating-Ego kujjuza ekifo kya governor wa bank eno, ekimaze emyaka 3 nga kikalu okuva Prof Emmanuel Mutebire lweyafa mu January wa 2022.
Abakulu bombiriri bano bajjidde mu kiseera nga bank enkulu etubidde mu bizibu okuli obuwumbi 60 ezaabulawo mu bank eno, n’abakozi abamu nebakwatibwa.
Governor wa bank enkulu n’omumyuuka we, okusinziira ku tteeka erifuga bank eno, era bebakulira olukiiko olwokuntikko olufuga bank of Uganda.