Akakiiko ka palamenti akalondoolo ebitongole bya gavumenti aka COSASE akakulirwa Joel Ssenyonyi kagenda mu maaso n’okukunya abakungu ba gavumenti n’abantu ba bulijjo abagambibwa nti besenza ku ttaka ly’eggaali y’omukka, Janet Kobusingye owa Mystil hotel n’omubaka Mwesigwa Rukaari bebenyonyoddeko.
Janet Kobusingye nannanyini woteeri ya Mystil e Nsambya ng’etudde ku ttaka ly’ekitongole ky’eggwanga ekyeggaali y’omukka yenyonyoddeko ku ngeri gyeyafunamu ettaka lino, naagamba nti baamuwa liwe okumuddizaawo olwettaka lye gavumenti lyeyamutwalako e Naggulu.
Agambye nti talina yadde ennusu gyayasasula okufuna ettaka lino erye Nsambya
Janet Kobusingye asinzidde mu kakiiko ka palament aka Cosase akakulemberwa Joel Ssenyonyi omubaka wa Nakawa West gyeyayitiddwa okwenyonyolako ku ngeri gyeyafunamu ettaka lino.
Kobusingye abuulidde ababaka nti yagula ettaka okuva ku bantu mu bitundu bye Naggulu, wabula akakiiko ka Kampala ekeby’ettaka nekasazaamu liizi y’ebyaapa byeyagulirako yiika z’ettaka 6 e Naguru, kwekubawawabira mu mbuga z’amateeka.
Ebyapa bino ebyettaka lye Naggulu Kobusingye agambye nti byaasazibwaamu gavument bweyali ayagala okuwaayo ettaka lino eri musiga nsimbi owa Opec, okuzimbako ekibuga ekyomulembe e Naguru.
Yusuf Nsibambi omubaka wa Mawokota south memba ku kakiiko kano bwatadde omukyala ono kunninga anyonyole engeri gyeyategeeramu nti ettaka lye Nsambya nti lyebamuliyiriddemu:
Anyonyodde nti bweyakuba Kampala district land Board mu mbuga zamateeka,yalabira awo nga bamukubidde essimu okuva mu state house ne ministry ya gavument ez’ebitundu nti bamuwaddemu ettaka lye Nsambya nti kwaaba akolera emirimu gye ettaka lye Nagulu alireke.
Janet Kobusingye agambye nti naye tamanyi ngeri akakiiko ka Uganda land commission gyekaamuwaamu ettaka lino erye Nsambya, nti era bennyinyi bebalina okunyonyola ye talina kyamanyi kusingaawo.
Agambye nti n’ettaka lyebaamuwamu e Nsambya yasigala abanja yiika ze bbiri namba, nti kubanga teryenkana nettaka lye yiika 6 ezaamutwaalibwaako e Nagulu.
COSASE eragidde omubaka wa Mbarara city North Mwesigwa Rukaari
okutwala receipt eziraga nti yagula ettaka eryali erya kampuni ye gali
y’omuka eya uganda railway corporation mubitundu eby’eNsambya.
Ekitongole kya Uganda railways corperation kigamba nti ettaka lyakyo lyatwalibwa era neritundibwa, wabula ensimbi ezaavaamu obuwumbi 69 ekitongole kino tekizifunanga.
Akakiiko kano era kalagidde omubaka wa Mbarara city North Mwesigwa Rukaari okutwala alisiiti eziraga nti yagula poloti ssatu ku ttaka ly’eggaali y’omukka e Nsambya era ye ategezezza nti yaligula mu mateeka.
Wabula Rukaari era ategeezezza akakiiko nti yetaaga akadde akawerako okunoonya alisiiti ezo, era kamuwadde wiiki emu abeere ng’azireese.