Eyaliko minister wa Kabaka, era nga yoomu ku baatandika radio y’obwakabaka CBS FM Owek hajji Mustafah Mutyaba avudde mu bulamu bwensi eno afiiridde mu ddwaliro e Mengo ku myaka 84 egy’obukulu.
Yazaalibwa mu 1937 afudde nga 24 August 2023.
Owek Mutyaba yómu ku baakola n’amaanyi okulaba nga Radio ya CBS Fm etandikibwawo mu 1996, era abadde atuula ku lukiiko olufuzi olwa radio eno.

Yaliko minister w’ebyamawulire mu bwakabaka bwa Buganda, era abadde muwandiisi w’e bitabo omugundiivu nga awandiise ebitabo ebirambika ku byenjigiriza n’ebyeddiini.
Owek.Mutyaba y’abadde nannyini kampuni eya Crane Books
Ebitabo by’awandiise
Ebyafaayo byobusiiramu
Kabaka Muteesa ku nsiko
Blasio Aliddeki
Omuvubuka Agunjuse
Prince Nuhu Mbogo
Obuwangwa n’ennono z’Abaganda
Ebiseera bya Chwa ne Muteesa II
n’ebirala.
Ssentebe w’Olukiiko olufuzi olwa boodi ya Radio ya Kabaka CBS Omuk Mathias Katamba, amwogeddeko ng’omuntu abadde akola obuteebala okutuukiriza obuweeereza bwe.
Agambye nti Omugenzi alijjukirwa nnyo olw’Obwetowaaze eri Ssaabasajja, n’Okuwagira Obuganda mu mirimu egyenjawulo.

Minister omubeezi owa tekinologiya mu government eyawakayi Owek Joyce Juliet Nabbosa Ssebuggwawo eyakolako n’omugenzi Mutyaba, agambye nti Omugenzi Owek Mustafa Mutyaba yali musaale mu kuzzaawo Obwakabaka, era nga abadde ayayaanira nnyo okukulaakulana kw’Olulimi Oluganda n’Ennono.
Akulira enzirukanya y’Emirimu ku CBS Robert Kasozi ,agambye Omugenzi Owek Mutyaba abadde wankizo nnyo mu kuwandiika ebitabo by’Olulimi Oluganda,era nga n’Emirimu gya Radio ya Beene abadde akyagikola bulungi.
Enteekateeka z’okuziika.
Omugenzi hajji Mustafah Mutyaba agenda kusaalirwa ku muzikiti e Kibuli ku ssaawa mukaaga ez’emisana.
Oluvannyuma omubiri gwe gwakutwalibwa mu maka ge e Nakasozi Buddo era gy’agenda okuziikibwa.#