Omuzannyi wa ttiimu y’eggwanga ey’omupiira ogw’ebigere eya Uganda Cranes, omuwuwutanyi Bobosi Byaruhanga, yegasse ku club ya Oakland Roots egucangira mu liigi y’ekibinja eky’okubiri mu America eya United Soccer League Championship.
Bobosi Byaruhanga wa myaka 23, avudde mu club ya Austin II era eya America, era yali musaale nnyo mu kuyambako club eno okuwangula liigi Major League Soccer Next Pro mu 2023.
Bobosi Byaruhanga okuzannyira e Bulaaya yatandikira mu club ya MFK Vyskov eya Czech Republic mu January wa 2023, wabula ttiimu eno oluvanyuma yamusindika ku bwazike mu club ya Austin II eya America.
Bobosi Byaruhanga omupiira yagutandikira mu club ento eya Vipers, oluvanyuma y’egatta ku club enkulu eya Uganda Premier League okuva mu 2019 okutuuka mu 2021.
Ttiimu y’eggwanga eya Uganda Cranes yakagizanyira emipiira 19 okuva mu 2021, wabula nga yasooka kuzannyira ttiimu ento eya Uganda Hippos.
Bisakiddwa: Isah Kimbugwe