Police mu Kampala n’emiriraano ekutte omusirikale waayo akubye omuyizi wa Uganda Christian University amasasi agamulese ng’anyiga biwundu.
Akubiddwa amasasi agamuviriddeko okuddusibwa mu ddwaliro okufuna obujjanjabi ye Naggayi Natasha myaka 21, muyizi ku Uganda Christian University abadde asula mu kyalo Nabuti mu diatrict ye Mukono.
Amukubye amasasi ye ASP Tebangole Dismass myaka 57, wa kitongole kya police ekikuuma abakungu n’okulwanyisa obutujju ekya Counter Terrorism Police.
Kigambibwa nti Naggayi yabadde agenze ne muganzi we Bandishe Ashiraf okukyakalako akawungeezi, bweyakooye kwekusalawo muganzi we okumulekayo ye nadda ewaka awummule.
Ebyembi yatuukidde ku muzigo mulala ogubaliraanye n’agezaako okuggulawo, mweyasanze omusirikale Tebangole Dismass.
Kigambibwa nti mu mbeera eyo Tebangole bweyawulidde omuntu agezaako okukikiitanya olujji lwe yalowoozezza nti babbi, kwekuggyayo bbaasitoola n’akuba amasasi agaakutte Naggayi mu kifuba n’atandika okulaajana nti ssi mubbi abadduukirize kwekumuddusa mu ddwaliro.
Amyuka omwogezi wa police mu Kampala n’emiriraano Luke Owesigire agambye nti omukwate akumibwa ku police e Mukono, ng’okunoonyereza bwekugenda mu maaso.
Bisakiddwa: Lubega Mudashiru
.