Omuteesiteesi omukulu mu ministry y’ebyensimbi Ramathan Ggoobi awadde bannaugamda amagezi okwesiga embalirira y’eggwanga 2025/2026 eyakayisibwa, nti yakubaako ebintu ebyenkizo byekyuusa mu ggwanga.
“Tetwamala gayisa mbalirira, wabula twekenneenya ebisobola okukulaakulanya eggwanga omuli eby’obulimi, obulambuzi, eby’obulamu ne tekonologiya”
Agambye nti ebyo ebirambikiddwa singa abantu babyesibako nebabikola n’amaanyi gabwe awatali kutuusa luwalo, obulamu bwabwe busobola okukyuka.
“Era wano wembuuliza- Mmwe abawoza nti ssente temuziraba mu nsawo, mukola ki?”
Abadde ku radio CBS Emmanduso mu ppulogulaamu Kkiriza oba Gaana, eweerezebwa Medie Nsereko Ssebuliba, okuva ku ssaawa emu okutuuka ku ssaawa ssatu ez’akawumgeezi, nga 19 June,2025.
Agambye nti government erina enkola nnyingi zeereeta ez’okwekulaakulanya abantu abamu nebazivumirira omuli parish developement Model, emyooga, Operatipn Wealth Creation, nebasigalira emabega ng’abalala bagenda mu maaso.
Agambye nti ensimbi ezo za bannauganda balina okuzikozesa, kubqnga ezimu era ziba zewoleddwa zikozesebwe.
“Bannauganda mulina okukimanya nti ssente government sente zeyeewola ziba zammwe nga bannansi okwekulaakulanya nga tuziyisa mu nkola za government nga PDM n’endala”
Agambye nti ekirungi ekiriwo, wadde ggwanga erikyakula, naye erina okulisasula nga tesanze buzibu ate neesigala ng’etuusa obuweereza ku bantu.
Agambye nti abantu abasiinga okuvumirira eggwanga okwewola bebasiinga amabanja ng’abantu era gegabayimirizzaawo.
Meddie Nsereko amubuuzizza nti Ssente zemusoma obuwumbi n’obuwumbi mu mbalirira era nebasuubiza nti ebyenkulaakulana byakukulira ku misinde, naye nti mu nsawo za bannauganda tebaziraba, Ggoobi abawadde gaabuwa:
” mwetabe mu by’obulambuzi n’obulimi mweyoolere ssente”
Akinogaanyizza nti Kasookedde Uganda ebeerawo eby’obulimi tebifunangako ssente mu mbalirira nga zebyafunye mu mbalirira eno eya 2025/2026.#