Police ne balubbira baayo ekyalemeddwa okuzuula omulambo gw’omuserikale waayo Justin Rubangakene, eyagudde mu mazzi ku mwalo gwe Obongi mu district ye Moyo mu kiro.
Omuserikale ono amazzi yagaguddemu ku ssaawa bbiri ez’ekiro, era kigambibwa yasinzittuse okuva ku kidyeeri ekyabadde kiyimiridde ku mwalo ogwo, so nga waliwo nebigambivwa nti yesudde yekka mu mazzi, mu ngeri y’okweggya mu bulamu bw’ensi
Azabo Tobius yemuserikale eyabadde akuuma ekidyeeri kino n’Omugenzi Rubangakene, akwatiddwa okuyambako police mu kunoonyereza.
Kigambibwa nti mu kiseera Rubangakene weyagwiridde mu mazzi, waliwo amasasi agaavugidde ku kidyeeri kino.
Kigambibwa nti gaakubiddwa okutegeeza abakwatibwako nti waliwo akabi akaabadde kaguddewo.
Akola ng’omwogezi wa police mu district ye Moyo Dragudu Ignatius agambye nti waliwo Okunoonyereza okwenjawulo okutandise okukolebwa ku muserikale Azobo olw’amasasi agaavuze, era kiteeberezebwa nti Rubangakene yandiba nga yakubiddwa masasi.
Ebimu ku bintu ebibadde bikozesebwa omugenzi omuli emmundu ekika kya AK 47 ne Jacket bisangiddwa mu katebe k’ekidyeri nebigyibwayo nebitwalibwa ku police okuyambako mu kunoonyereza.
Bisakiddwa: Kato Denis