Nabagereka abadde ku Nottingham University mu Bungereza, bwabadde yeetabye ku matikkira agenjawulo, Omumbejja Katrina Sarah Nachwa Ssangalyambogo kwafunidde degree mu nzirukanya y’emirimu.
Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi ll asiimye naamuwa ekirabo ekyomuwendo.
President era nga ye Vice-Chancellor wa Nottingham University Prof. Shearer West, asabye abatikkiddwa okukozesa obukugu bwebafunye ng’eddaala okugenda ku mutendera oguddako mu byenjigiriza ne mu kisaawe ky’emirimu , okukyuusa embeera z’abantu ku mitendera gyonna.
Oluvannyuma lw’amatikkira agabadde ag’ebibala Omumbejja Catrina Ssangalyambo asembezza abagenyibe ku kijjulo ekitegekeddwa mu Corinthia courtroom Whitehall mu Kibuga London.
Ekijjulo kino kyetabyeko Abalangira n’abambejja omubadde Nalinnya Victoria Nkinzi, omulangira Crispin Jjunju Kiweewa, Jade Nakato ne Jasmine Babirye.
Mu balala abeetabye ku kyeggulo mubaddemu omumbejja Catherine Doreen Bwete, Nakuya Juliet, Venerable Dr. Prince Daniel Kajumba, omubaka wa Beene mu Bungereza ne Ireland Owek. Ssalongo Geoffrey Kibuuka n’Omumyuukawe, The Rev. Enock Kiyaga Mayanja, Omukungu GW Kalanzi, Omutaka Nkalubo Richard akulira ekika ky’Omusu n’abalala bangi.
Omumbejja Katrina Sarah Nachwa Ssangalyambogo yasomera ku Kampala Junior Academy, Kabira International School of Uganda kati eyafuuka Kampala International School, Peponi School e Nairobi mu Kenya ne Nottingham University gy’afunidde degree ye esooka mu nzirukanya y’emirimu (Bachelor of Science with Honors in Management).
Bisakiddwa : Kato Denis