Abadde mu makage e Kibuli gy’agabulidde abasiraamu oluvannyuma lw’okusaala Eid Adhuha mu muzikiti e Kibuli.


############
Obubaka obuvudde mu bitundu ebirala
Busiro
Okusaala Idi e Kabalira mu Busiro okukulembedwamu Supreme Khadi wa Wakiso, Sheik Kasim Ssengoonzi bakuluηamiriza ku bubaka bwa Ssabasajja Kabaka bweyabawadde obwa Eid, ate n’okulabula abasiraamu nebanabyabufuzi obutaba babulimba nakulyazamaanya ggwanga lyabwe.
#######
Mubende
Sheikh Kulumba akulembeddemu okusaala okubadde mu Mayors Garden e Mubende asabye abayisiraamu okunyweza obumu bwabwe.
########
Gomba ne Butambala
Mu district eye Gomba, mukusaala okubadde kumuzikiti ogumanyiddwa nga Ogwomukiwalabu Katete mu muluka gwe Bulwadda mu ggombolola ye Kabulassoke, district khard owa Greater Mpigi nga yatwaala district ye Gomba, Butambala wamu ne Mpigi wansi wa Uganda Muslim supreme council, Sheikh Musa Kayongo, alabudde abasiraamu beegendereze okutambuliza ku mikutu emigatta bantu, buli nsonga ya ddiini y’obusiraamu.
##############
Mawogola Ssembabule
ABADDU ba Allah abasiraamu abakunganidde mukusaala Eid Aduha kumuzigiti ogwa Muhamedali Meghan mu kibuga kye Mateete mu Ssaza Mawogola, beebazizza Ssaabasajja olw’obubaka bweyabawadde obwesigamye kunsonga enkulu satu bwebagambye nti bwabadde bwamakulu nnyo.
Akulira Daawa e Sembabule kuludda olwe Kibuli, Sheikh Ahmad Kyessa agambye nti Ssaabasajja yakonedde ddala ku nsonga eziruma abantu naddala okusabira eggwanga engeri gyerigenda muby’okulonda okwakaasa meeme saako abo abanyigirizibwa nga bamalibwako eddembe lyabwe kko n’okubuzibwawo kyasabye kikomezebwe awamu n’abantu okwogera kwebyo byebamaze okusengejja.
Sheikh Ahmad Kyesswa avimiridde olw’ebikolwa eby’obutabanguko ebisuse mu maka.