Omulamuzi wa Kooti ejulirwamu mu Bungereza (England ne Wales ) Sir Geoffrey Vos akyaddeko embuga mu Bulange e Mengo.
Ayaniriziddwa Ssaabawolereza wa Buganda Owek Christopher Bwanika ne minister w’ebyamawulire era Omwogezi w’Obwakabaka Owek.Israel Kazibwe Kitooke.
Bamulambuzze n’amasiro g’e Kasubi, ngali wamu n’abalamuzi mu kkooti ejulirwamu e Nigeria Tijane Abubaka ne Nnamdi Dimgba,Omid Reza Naziri okuva mu Royal courts of Justice London n’Abalala.
Owek.Bwanika amulambululidde ku ntekaateeka Namutaayiika Obwakabaka gyebulina, okukolagana ne bannamukago ku mitendera gyonna, okusitula ebyenfuna by’Abantu.
Owek Bwanika agambye nti enkulaakulana etuukibwako mu nsi yonna esiinga kwesigamizibwa ku kubaawo kwa nfuga egoberera Amateeka , Obutebenkevu n’ebyobulamu ebirungi.
Omulamuzi Goeffrey Voz agambye nti oluvannyuma lw’Olukungaana lw’Abalamuzi ba kkooti z’Ebyobusuubuzi, basazeewo okukyalako e Mbuga, okumanya engeri Amawanga ga Africa gyegayinza okukulaakulanyaamu Kooti z’Ebyobusuubuzi, kiyambeko mu kusikiriza ebyobusuubuzi n’Okusiga ensimbi, era yeyanzizza olwomukisa gwaafunye nakyaalako mu Bulange.
Emmanuel Finndoro – Obasi akulira ebyobusuubuzi n’Okusiga ensimbi mu Africa House London agambye nti siinga Africa yettanira enfuga egoberera Amateeka yakuseeseetuka okuva weeri mu nkulaakulana, kyokka nategeeza nti Ensi Buganda erimu emikisa gy’Okusiga ensimbi mingi, gyagenda okukubaganyaako ebirowoozo ng’azzeeyo.
Bisakiddwa: Kato Denis