Police ye Bugiri ekutte abasajja 3 ku bigambibwa nti baliko kyebamanyi ku kuttibwa kw’omulambuzi w’amasomero mu district eyo Kazungu David Tenywa.
Omulambogwe gusangiddwa mu kabuyonjo ku faamuye.
Omwogezi wa police mu kitundu ekya Busoga East SP Nandaula Diana nti abakwate bakola ku faamu y’omugenzi Kazungu e Nandelema mu gombola ye Kapyanga e Bugiri.
Kitegeerekese nti Kazungu yawambibwa ku lunaku lwa Saturday eyise, era okuva olwo babadde bamunoonya, okutuusa bwebamulisizza mu kabuyonjo eri ku faamu ye, balengedde mulambo.
Bisakiddwa: Kirabira Fred