Omukyala Jane Mukisa akwasiddwa pikipiki ye kapyata, gyeyawangula mu Nkuuka Masavu nga 31 December,2024, mu Lubiri lwa Kabaka e Mengo.
Pikipiki yawebwayo kkampuni enkozi y’ebizigo eya Movit.
Jane Mukisa akwasiddwa pikipiki ye ku kizimbe Masengere e Mengo.
Agambye nti okuwangula, yagula ebizigo bya Movit bya shs omutwalo gumu (10,000/=), naayingira mu kalulu k’okulonda omuwanguzi, era kaagwa ku ye namukisa neyewangulira pikipiki.#