Omukulembeze wekibiina kya National Unity Platform era avuganya ku Entebbe yomukulembeze weggwanga lino Robert Kyagulanyi Ssentamu Bobiwine, asimbudde okwolekera mu bendobendo lya West Nile, gyagenda okutongoleza nokutandiika kampeyini ze mu butongole okuwenja akalulu akanamutuusa mu ntebbe yobwa President omwaka ogujja.

Omukulembeze wekibiina kya National Unity Platform era avuganya ku Entebbe yomukulembeze weggwanga lino Robert Kyagulanyi Ssentamu Bobiwine, asimbudde okwolekera mu bendobendo lya West Nile, gyagenda okutongoleza nokutandiika kampeyini ze mu butongole okuwenja akalulu akanamutuusa mu ntebbe yobwa President omwaka ogujja.

Robert Kyagulanyi ssentamu olunaku olwenkya wakutandiikiraa mu district ye Pakwach azeeko Nebbi bwaatyo akkomekereze ne district ye Arua, wabula ono bwabadde asimbula okwolekera West Nile, asoose kwogerako eri bannakibiina kino neggwanga okutwaliriza awamu mwategereza nti ekibiina kyaasalawo kitandiikire mu bendobenda lya West Nile naddala Arua kubanga Arua ye Mecca wolugenda lwaabwe mu kulwanirira enkyukakyuuka.

Robert Kyagulanyi Ssentamu agamba nti olugenda lwebatandiise olwaleero, lulina kugweera ntebbe mu maka gobwa President , era ono asabye bannansi akalulu kano baleme kukatwaala nti kakusaagiramu, wabula kagendereddwaamu kyaayise okununula ensi eno.

Okusinziira ku Robert Kyagulanyi yadde obudde obwalambikibwa akakiiko kebyokulonda butono ddala, bannansi bonna buli nsonda yansi agenda kugituukamu ngayita mu mikutu egyenjawulo okuli naye okwetuukirayo, okuyita ku mukitu emigatta bantu, emikugu gyamawulire nebirala okulaba nti obubaka butuuka ku buli munnansi.

Bannamawulire nabakulira emikutu gyamawulire nabo aliko obubaka bwabawadde ngasimbula, mwabasabidde okwegyamu embeera yokutiisibwatiisibwa naddala ebitongole ebikuuma ddembe ebitiisatiisa nti tebamukyaaza.


Omumyuuka wa President wekibiina mu mambuka weggwanga Lina zedriga agambye nti olugenda lwa Uganda enkya lutandise, lugwa ekibiina kya NUP kyekiri mu ntebbe

Wabula yadde omubaka ono yaggoba abakuuma ddembe bebaamuwa, ate bwabadde asimbula babaddewo era boolekedde naye, wabula tekubadde akkiriziddwa kutuula mu mmotoka ye, abakuumi be abamukuuma bulijjo beebatambulidde mu mmotoka ye.

Joel Ssenyonyi agambye nti abakuuma ddembe ddembe bano beesiba bweesibi ku mukulembeze waabwe ye yabagoba kyaggwa.

Cue in ………. Ssenyonyi abakuuma ddembe

Emirimu nebyentambula byo bisanyaladde e Kamwookya noluguudo lwa Kira Road Robert Kyagulanyi Ssentamu bwabadde asimbula okuva ku kitebbe kyekibiina kino e Kamwokya okugenda mu Arua, era ono agenze awubira ku bantu

Facebook Comments Box

Be the first to comment

Leave a Reply