Olusirika lw’ababaka bannakibiina kya NRM olumaze ennaku 9 nga luyindira e Kyankwanzi lukomekerezeddwa nga bayisizza ebiteeso 16, byonna bisimbye ku nsonga ya kukolera wamu ng’akabondo.
Olukungaana olusembyeyo era gyebayisirizza ebiteeso lutudde mu maka góbwa President agasangibwa e Ngoma mu Disrict ye Nakaseke.
Ensonga ya Ssentebe w’e kibiina kyabwe era president wa Uganda Yoweri Kaguta Museveni Tubuhaburwa okuddamu okukwatira ekibiina kyabwe Bendera ku ntebe y’obwapresident mu Kalulu kábonna akasuubirwa mu mwaka gwa 2026 awatali kuvuganyizibwa, bakijulizza CEC.
Ssentebe wa NRM mu Buganda Kiwanda Ssuubi agambye nti kati balinze lukiiko lwe kibiina olwókuntikko olwa Central Executive Committee okusalawo ekyenkomeredde.
Mu biteeso ebiyisiddwa; Ababaka ba parliament bannaNRM balagiddwa okukomya okutwala amabago g’amateeka mu parliament oba okuwagira ababaka abalala ababa batutte amabago g’amateeka mu parliament,okugyako ng’akabondo katudde nekafuna eddoboozi eryawamu.
Mu lusirika luno era ababaka basazeewo nti ssemateeka w’ekibiina akyusibwe ,okulonda ba commissioner ba parliament aba kaadi ya NRM kugyibwe mu CEC ,ababaka bebaba beerondera ba commissioners okuyita mu kubakubako akalulu.
Enkola ebaddewo ,olukiiko lwa NRM olwa CEC lwerubadde lulonda ba commissioners ba parliament abasatu ku kaadi ya NRM ,wabula wabaddewo okwemulugunya nti abantu abalondebwa olukiiko lwa CEC tebakiikirira nsonga z’ababaka
Olusirika luno era lusazeewo nti ng’embalirira y’eggwanga tenayisibwanga,lwakusookanga kusisinkana ababaka okufuna eddoboozi eryawamu, era mu mbeera yeemu,ababaka balabuddwa obutawakanya ebibeera biyisiddwa.
Ababaka ba NRM bano era abakulu mu kibiina babakuutidde okwewala enjawukana mu kibiina n’amaloboozi agakontana ku nsonga ezenjawulo.
Basazeewo nti akabondo kano buli lwewanaabangawo ensonga nti enkulu, bakusisikananga okufuna eddoboozi eryawamu
Mu lusirika luno era, kisaliddwawo nti ababaka bawagire nnyo enteekateeka za president Yoweri Kaguta Museven ez’okuggya bannansi mu bwavu naddala eya parish development model.#