
Okunonyereza okwakoleddwa kubavubuka mu ggombolola etaano ezikola ekibuga Kampala, okwakulembeddwamu abakugu ku ssetendekero wa Makerere kulaze nti abavubuka bangi tebakyalina ssuubi okuviira ddala mu maka gyebabeera n’embeera endala, ebireeteddwa omuggalo gwa covid 19.
Dr Joseph Matovu, omukugu mu byobulamu ebyabulijjo (Public Health), okuva ku bbanguliro lyabasawo e Makerere, mukwogerako ne bannamawulire wakati mukwetegekera okutongoza alipoota eno olunaku lwénkya, ategezezza nti okunonyereza kwabwe bakukoze kubavubuka abalenzi 2500 mu ggombolola za Kampala zonna e 5, wabula nga kizuliddwa nti bangi bayise mukusoomozebwa okwamanyi okubaleetedde okwagala okwejja mu budde.
Mungeri yeemu alipoota eraze nti abavubuka ebitundu 39%, bayise mukweralikirira okwamanyi olwóbutaba na kyakulya olwomuggalo, ekiviiriddeko nabamu okulwala endwadde z’emitwe.
Okunonyereza kuno kwakoleddwa wakati womwezi gw’omusanvu n’ogwomunaana, era kwakoleddwa ngabaana basangibwa mumaka gaabazadde baabwe, okwewala okusaasanya ekimbe kya Covid 19, era nekizuulibwa nti abavubuka bangi, tebajjumbira nabyakukola dduyiro, era abasinga obudde babumalira ku mitimbagano.
Dr Josph Matovu, agamba nti byebazudde mu bavubuka ebitundu 76% balowooza nti bazadde baabwe tebabafaako ate abalala balowooza nti abazadde tebabategeera.
Mu kunonyereza kuno era kizuuliddwa not ebikolwa ebyokwenyigira mu ttamiiro nokukozesa ebiragalagala, byeyongedde nnyo mubavubuka abato, naddala mukaseera kano akoomuggalo, era nga weetagisaawo okubulirira kwabazadde naddala okulaga akabi akali mu bikolwa bino.