Ndejje University ng’ekuza olunaku lwa Radio munsi yonna, esiimye radio ya Ssaabasajja Kabaka CBS FM, nga radio ekoze eky’amaanyi okukyusa obulamu bw’abantu, omuli okulwanyisa okutyoboola obutonde bw’ensi, okuwa abavubuka emirimu, okusomesa abayizi abagezesebwa okukola ku radio, okukuunga abantu n’ebirala.
Egitonedde engule egisiima olwa kaweefube gweriko ng’ekulaakulanya eggwanga, saako n’abakozi kinnoomu basiimiddwa.

Minister w’amawulire era Omwogezi w`Obwakabaka Owek Israel Kazibwe Kitooke, asinzidde ku mukolo guno nasaba bannamawuliire okukwata omumuli mu kukuuma n`okuzaawo obutonde bwensi, okuyamba emirimbe egiriddako okweyagalira munsi eno.

Olunaku luno olwa Radio lutambulidde ku mulamwa Ogw’okukozesa eddoboozi lya Radio okutuusa obubaka obukwata ku nkyukakyuka y’obudde ku buli muntu (Radio and Climate Change).
Ndejje University yeyambisizza omukolo guno nesiima bannamawuliire abenjawulo ng`ebawa engule.

Bannamawuliire abasiimiddwa era nebaweebwa Engule kuliko Hajji Abbey Mukiibi Nkaaga, Hajji Abbu Kawenja aba Cbs fm, Ssuuna Ben owa Bukedde fm, Eseza Kazimba amanyiddwa nga Eseza Omuto, PK Bossa owa Kaboozi ku bbiri, Waguma Kisuule owa Radio Simba, Mukalazi Kyobe eyali owa Uganda Radio, nabalala.
Hajji Abbey Mukiibi Nkaaga avunaanyizibwa ku bigenda ku mpewo za Cbs fm radio , agamba nti engule eno ebaweereddwa kabonero akalaga nti obuweereza bwabwe eggwanga libusiima.

Hajji Abu Kawenja omuwereeza Ku Cbs, awabudde abaana abato abegomba omulimu gw’amawuliire, abagambye nti balina kusooka kugwagala nnyo, okubeera abakozi, abalemerako era abagumiikiriza.
Dr. Primrose Nakazibwe kulwa Ssetendekero wa Ndejje, agambye nti basalawo okuwa bannamawuliire engule zino nga akabonero ak`okusiima emirimu gyabwe.
Bisakiddwa: Musisi John