Omumyuka asooka owa Katikkiro wa Buganda, Owek. Prof. Twaha Kigongo Kaawaase, agenze Kano mu bukiika kkono bwa Nigeria, gy’atumiddwa Ssaabasajja Kabaka ku mirimu emitongole.
Agenze kwetaba mu bikujjuko ebya “Kano Durbar Cultural and Religious Festival”. Awerekeddwako Owek. Mariam Nkalubo Mayanja, n’omuyambi we Joweria Mbejjo.
Baaniriziddwa Omumbejja Nere Emiko, avunaanyizibwa ku by’Obuwangwa ku lwa Emir w’e Kano, n’abakungu ba Emir abalala.
“Kano Durbar” nteekateeka etambulizibwa ku mulamwa ogw’obuwangwa n’eddiini, okujaguza entikko y’omwezi ogwa Ramadhan ogw’okukuza Eid Elfitr, ate n’okukuza Eid Al-Adha ey’okusala ebisolo, mu kitundu ekyo.
Yeetoololera ku Emir of Kano, ng’etandika n’okusaba, ate oluvannyuma ne batambulira ku luseregende lw’embalaasi, okwolekera Olubiri lwa Emir w’e Kano, entikko y’emikolo gye gigwera ng’abantu bakungaanye okwoleka obuwulize eri Emir.
Ebikujjuko bimala ennaku 4 era bitandise,nga boolesa ebintu eby’enjawulo ebyekuusa ku buwangwa n’emirimu egikolebwa mu kitundu ekyo.