Police námagye byetaaga obuwumbi bwa shs 4 n’obukadde 400, okugula embwa ezikonga olusu eziwera 1500, zibiyambeko mu kunonyereza ku buzzi bw’emisango.
Buli mbwa egenda kugulibwa obukadde bwa shs 30.
Police eyagalako obuwumbi 4 n’obukadde 968 okugula embwa 750, amaggye nago gagala kugula embwa 750.
Ensimbi zino police n’amagye zaazisabye mu mbalirira ekyali mu bubage eyomwaka gw’ebyensimbi oguggya 2023/2024.
Wabula yadde Police yetaaga ensimbi zino obuwumbi 4 n’obukadde 968 okugula embwa 750,yawereddwako obukadde 310 bwokka.
Ssentebe w’akakiiko ka parliament akalondoola ebyokwerinda n’ensonga zomunda mu ggwanga Rosemary Nyakikongoro agambye nti ensimbi zino obuwumbi 4 n’obukadde 968 ziriko nez’emmere y’embwa zino, naagamba nti okuliisa embwa zino kyabbeeyi okusinga okulyisa abantu.
Embwa zino zirabirirwa kitongole kya police ekyaCanine Unit,
Ekitongole kino kyatandikibwawo mu 1958 némbwa 4, era nga kyayitibwanga Dog Unit.
Mu 2012 kyakyusibwa erinnya nekiyitibwa Uganda police Canine Unit.