Obululu bw’empaka z’omupiira ogw’ebigere eza Africa Cup of Nations U17 CECAFA Zonal Qualifiers buzeemu okukwatibwa omulundi ogw’okubiri, era Uganda eri mu kibinja A ne Tanzania ne Kenya.
Obululu buno bukwatiddwa ku kisaawe kya St Mary’s Kitende.
Ekibinja B mulimu Sudan, Somalia ne South Sudan.
CECAFA yakufulumya ensengeka empya ez’emipiira nga bwegigenda okuzannyibwa.
Obululu bwakwatiddwa mulundi gwakubiri oluvanyuma lwa Burundi ne Ethiopia okuwanduka.
Empaka zino zigenda kuzannyibwa okuva nga 14 okutuuka nga 28, December,2024 era zigenda kuzannyibwa wano mu Uganda mu kisaawe kya St Mary’s Kitende ne Nakivubo.
Ttiimu y’eggwanga eyabazannyi abatasusa myaka 17 eya Uganda Cubs etendekebwa omutendesi Brian Ssenyondo era ono yayita abazannyi 37 okwetegekera empaka zino.
Empaka ezakamalirizo eza Africa Cup of Nations U17 zigenda kubeerawo mwaka gujja 2025, era ekitundu kino ekya CECAFA kigenda kukikirirwa ttiimu 2 zokka.
Bisakiddwa: Isah Kimbugwe