Munnamateeka Erias Luyimbaazi Nnalukoola yoomu ku bantu 8 abakaggyayo kaadi, okuvuganya ku kifo ky’omubaka wa Kawempe North.
Okuwandiisa abegwanyiza kaadi y’ekibiina kwakumala ennaku bbiri, nga ku lunaku olusooka, bawandiisizza 8.

Abegwanyisa ekifo bagenze n’abawagizi babwe ku kitebe ky’ekibiina e Makerere Kavule okuwandiisibwa okuvuganya ku kaadi y’ekibiina, era buli omu avuddeyo ng’awera nti obuwagizi abuweza, era nti yasaanye okwesimbawo.
Abakulira eby’okulonda mu NUP basaawo olwa nga 05 February,2025 okulaangirira anaaba ayise mu kasengejja, akwatire NUP akalulu.
NRM yo yamalirizza okusunsula owaayo,ye Hajjati Faridah Nambi.