Akakiiko k’ebyokulonda mu NRM kayimirizza bannakibiina okukuba kakuyege ku nkuηηaana ezaawamu, mu kalulu kakamyufu akagenda mu maaso, mu district ye Sembabule, Bundibugyo ne Rwampara olw’emivuyo egyetobeseeyo.
Mu district ye Ssembabule, constituency ye Rwemiyaga ne Mawogola West.
E Bundibugyo, obuzibu buli mu Bwamba County.
Ssentebe w’akakiiko k’ebyokulonda Dr. Tanga Odoi alabudde bannakibiina abesimbyewo okwewala okutiisatiisa abakulira ab’ebyokulonda ku district.
Bisakiddwa: Betty Zziwa