Bya Davis Ddungu
Omubiri gwa Namasole Margret Nagawa Ssiwoza, guterekeddwa ku kyalo Kyaliwajjala mu municipaali ye Kira mu district ye Wakiso.
Namasole yazaama nga 30 November 2021, oluvanyuma lwokutawanyizibwa obulwadde okumala akaseera, era ssanduukoye ebikiddwako bendera ya Buganda.
Bw’abadde akulembeddemu okusaba n’okubuulira mu kuziika e Kyaliwajja, omulabirizi wa central Buganda eyawummula, Kitaffe mu Katonda Rt Rev. Jackson Matovu, agambye nti Namasole alese omulembe ogukyetaagisa okulungamizibwa okutereza ebiseera eby’omumaaso, byagambye nti byetaaga kuwonga nnyo eri omutonzi.
Namasole Margret Nagawa Siwoza nga tanaterekebwa, ekanisa ya Uganda esoose okusabira omwoyo gwe mu ngeri ey’enjawulo n’okujjukira emirimu omugenzi gyakoledde eggwanga n’eddiiniye ey’obukulisitaayo.
Bwabadde yeetabye mu kusaba kuno okubadde mu lutikko ya St Paul e Namirembe enkya ya leero, Katikkiro wa Buganda, Charles Peter Mayiga ategezezza Obuganda nti Obwakabaka bwafunye Namasole omujja, kyokka nti wakulangirirwa mu kaseera akatuufu.
Katikkiro era annyonyodde nti Namasole Ssiwoza akoze kinene okwagazisa abavubuka emirimu gy’obwakabaka n’okubalaga amakulu g’obwa Namasole.
Ssabalabirizi w’ekkanisa ya Uganda, The Most Rev. Dr. Samuel Steven Kazimba Mugalu Mboowa, asinzidde mu kusaba kuno, naakakasa nti ekkanisa efiiriddwa omuntu abadde ayagala eddiini era asaasidde Obwakabaka okuviibwako empagi ey’amaanyi.
Omulabirizi we Namirembe, Wilberforce Kityo Luwalira, n’omulabirizi wa West Buganda, Henry Katumba Tamale, abakulembeddemu okubuulira, basabye abantu okufaayo okwetegekera ebiseera byabwe eby’omumaaso naddala eby’omuggulu oluvanyuma lw’okufa, kyokka nti kino kyakusoboka ssinga abantu banadda eri Katonda mu nneyisa n’ebikolwa byabweĺ.
Omutaka jjajja Mugema Charles Nsejjere, akulira ekika ky’enkima mu bubaka bwayisizza mu katikkiro w’ekika, Mugadya Micheal, agambye nti ekika kifiiriddwa omuntu abadde ayagala ennyo okulwanirira obutonde bwensi, omwana omuwala, n’obwakabaka.
Abaana b’omugenzi nga bakulembeddwamu, Anthony Nakibinge, beeyamye okukulemberamu emirimu gyannyabwe naddala okuba abeetowaze eri buli muntu.
Okusaba kuno kwetabiddwamu abaana b’engoma, Abalangira n’abambejja, Ba Nnalinya, Maama Nabagereka, ba minister ba Buganda, Katikkiro eyawummula Dan Muliika, minister omubeezi ow’eby’amawulire n’okulungamya eggwanga, Joyce Juliet Nabbosa Ssebugwawo, bannabyabufuzi, nga bakulembeddwamu akulira ekibiina kya NUP Robert Kyagulanyi Ssentamu Bobi Wine, n’akulira oludda oluwabula gavumenti mu paalamenti, Owek Mathias Mpuuga, abalabirizi okuli owa West Buganda, Katumba Tamale n’owe Mukono, James Ssebaggala, Msgr Charles Kasibante kulwa Ekereziya, abawule n’abantu abalala bangi.
Namasole yazaalibwa mu 1945, yafa nga 30 November 2021, era w’afiiridde ng’aweza emyaka gy’obukulu 76, alese abaana 7, abadde mufumbo ew’omwami Herbert Muyanja.
Omugenzi Namasole Margret Nagawa Siwoza Nagawa, y’atandika obuwereza bwe mu mwaka gwa 2013 oluvanyuma lwa Namasole Rebecca Zirimbuga okuseerera.
Namasole Zirimbuga yeyasikira Namasole Sarah Nalule Kisosonkole eyazaala Ssabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II.