Omuteebi wa ttiimu y’eggwanga ey’omupiira ogw’ebigere eya Uganda Cranes, Muhammad Shaban, yegasse ku club ya Al Anwar egucangira mu liigi ya babinywera eya Libya, nga avudde mu club ya Al Hilal Benghazi era eya Libya.
Muhammad Shaban mu club gy’agenzemu eya Al Anwar, agenzeyo ku bwazike okutuuka kunkomerero ya season eno n’ekigendererwa eky’okwongera okufuna obudde obuwerako okuzannya omupiira, bwatabadde nabwo mu club ya Al Hilal Benghazi.
Muhammad Shaban yegatta ku club ya Al Hilal Benghazi mu 2023, ng’ava mu club ya KCCA eya Uganda Premier League.
Muhammad Shaban wano mu Uganda, azanyiddeko club ya Onduparaka emirundi 2, KCCA emirundi 2 ate Vipers omulundi gumu, wabula era yazanyirako club ya Raja Casablanca eya Morocco.
Club ya Al Anwar gy’agenzeemu eri mu kifo kya 6 n’obubonero 11 ku ttiimu 9 eziri mu kibinja ekisooka, ku bibinja 4 ebisengekebwamu club za liigi y’okuntiko e Libya.
Club ya Al Hilal Benghazi gy’avuddemu yakubiri mu kibinja eky’okubiri n’obubonero 18 okuva mu mipiira 8.
Muhammad Shaban yoomu ku babadde abasaale nnyo mu kuyambako Uganda Cranes okukiika mu mpaka ezakamalirizo eza Africa Cup of Nations ezigenda okubeera e Morocco omwaka guno.
Bisakiddwa: Isah Kimbugwe