Kkooti ento e Kajjansi eyimbudde eyali omubaka wa Kawempe South mu parliament Mubarack Munyagwa ku kakalu ka kooti ka shs akakadde kamu ez’obuliwo.
Omulamuzi Doreen Karungi ayimbudde Munyagwa ne banne 4 oluvannyuma lw’omuwaabi wa government Marion Kwikiriza obutawakanya kusaba kwabwe okw’okweyimirirwa.
Munyagwa aleese abamweyimirira okuli Sulutan Nkonge ne Juma Walusimbi era bateereddwako akakalu ka bukadde busatu ezitali zabuliwo.
Abalala baavunaanibwa nabo okuli; ssentebe w’ekyalo Mutungo Paddy Kabuye, Isa Ssekitooleko, Joweria Nakafeero ne Godfrey Buwembo nabo bayimbuddwa ku kakadde kamu buli omu ez’obuliwo.
Bonna baavunaanibwa okusaalimbira ku ttaka kya kkampuni ya Dechomai Asset Trust Number Three LCC erisangibwa e Mutungo cell mu kajjansi town council e Wakiso.
Oludda oluwaabi era lulumiriza bano okwonoona omusiri gwa muwogo ogwa Opio Janan ogubalirirwamu obukadde butaano, ssaako okwekobaana okuzza emisango.
Bisakiddwa: Mpagi Recoboam